Luke 13:35 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Laba, ennyumba yammwe ebalekeddwa ttayo. Ka mbabuulire, temulindaba okutuusa lwe muligamba nti: ‘Atenderezebwe oyo ajja mu linnya ly'Omukama.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale laba ennyumba yammwe erekeddwa awo. Era mbagamba nti temugenda kuddayo kundaba okutuusa ekiseera lwe kirituuka ne mugamba nti, ‘Aweereddwa omukisa oyo ajja mu linnya lya Mukama.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, ennyumba yammwe ebalekeddwa kifulukwa; era mbagamba nti Temulindaba, okutuusa lwe muligamba nti, ‘Aweereddwa omukisa oyo ajja mu linnya lya Mukama.’”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Laba ennyumba yammwe ebalekerwa nga kifulukwa. Era mbagamba nti temulindaba, okutuusa lwe muligamba nti: ‘Atenderezebwe oyo ajja mu linnya lya Mukama.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, ennyumba yammwe ebalekeddwa kifulukwa; era mbagamba nti Temulindaba, okutuusa lwe muligamba nti Aweereddwa omukisa ajja mu linnya lya Mukama.