Luke 13:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kwe kugamba omulimi w'ennimiro eyo nti: ‘Laba kati gino emyaka esatu nga nzija ne nnoonya ekibala ku mukunyu guno, naye sisangako kantu. Guteme nno, guliira ki ettaka ery'obwereere!’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyeyava alagira omusajja we amulimira ennimiro eyo nti, ‘Omuti guno gutemewo. Kubanga gino emyaka esatu nga nambula omuti guno, naye tegubalangako kibala na kimu. Gwemalira bwereere ettaka lyaffe.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'agamba omulimi nti Laba, leero emyaka esatu nga njija okunoonya ebibala ku mutiini guno, ne ssibiraba, guteme; n'okwemala gwemalira ki ekifo obwereere?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agamba omulimi w'ennimiro nti: ‘Laba, kati emyaka esatu nga nzija okunoonya ebibala ku mutiini guno, ne sibisangako. Gutemewo, ate gwonoonera ki ettaka?’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agamba omulimi nti Laba, leero emyaka esatu nga njija okunoonya ebibala ku mutiini guno, ne ssibiraba; guteme; n'okwemala gwemalira ki ekifo obwereere?