Luke 13:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye oli n'ayanukula n'amugamba nti: ‘Ssebo, guleke, ne mu mwaka guno; ka ngutemeretemere, nteekeko n'obusa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omulimi we n’addamu nti, ‘Mukama wange, tuguleke tetugutemawo. Ka tuguweeyo omwaka gumu, nzija kugutemeratemera era nguteekeko n’ebigimusa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyokka omulimi n'addamu n'amugamba nti Mukama wange, guleke mu mwaka guno, mmale okugutemeratemera, nguteekeko n'obusa;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka omulimi w'ennimiro n'amuddamu nti: ‘Mukama wange, guleke ne mu mwaka guno, mmale okugutemeratemera n'okuguteekako ebigimusa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ye n'addamu n'amugamba nti Mukama wange, guleke mu mwaka guno era, ngutemeretemere, nguteekeko obusa;