Luke 14:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'oyitibwanga, ogendanga n'otuula mu kifo eky'emabega, oli eyakuyita ng'azze alyoke akugambe nti: ‘Munnange, weyongereyo waggulu,’ olwo n'ofuna ekitiibwa mu maaso ga bonna abatudde naawe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bwe bakuyitanga, otuulanga mu kifo eky’emabega, kale nno eyakuyise bw’ajja alyoke akugambe nti, ‘Mukwano gwange, jjangu nkutwale mu kifo eky’omu maaso.’ Noolyoka osituka nga ne bagenyi banno bakuwa ekitiibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bw'oyitibwanga ogendanga n'otuula mu kifo eky'emabega, oli eyakuyise bw'ajja, akugambe nti Mukwano gwange, sembera eno ku mwanjo; n'olyoka obeera n'ekitiibwa mu maaso g'abo bonna b'otudde nabo ku mmere.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bw'oyitibwanga, ogendanga n'otuula mu kifo ekisembayo, oli eyakuyise bw'ajja, alyoke akugambe nti: ‘Munnange, sembera eno waggulu,’ olwo olissibwamu ekitiibwa mu maaso ga bonna b'otudde nabo okulya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bw'oyitibwanga ogendanga n'otuula mu kifo eky'ennyuma, eyakuyise bw'anajjanga, akugambe nti Mukwano bwange, sembera eno ku mwanjo; n'olyoka obeera n'ekitiibwa mu maaso g'abo bonna b'otudde nabo ku mmere.