Luke 14:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo n'agamba oli eyali amuyise nti: “Bw'ofumbanga ekyemisana oba ekyeggulo, toyitanga mikwano gyo, oba baganda bo, oba abeŋŋanda zo, yadde baliraanwa bo abagagga, oboolyawo nabo ne bakuyita ne bakuddiza bwe batyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu n’akyukira eyamuyita n’amugamba nti, “Bw’otegekanga ekyemisana oba ekyeggulo, toyitanga mikwano gyo, wadde baganda bo, wadde ab’olulyo lwo, wadde baliraanwa bo abagagga; kubanga bw’okola otyo nabo bayinza okukuyita olulala ne baba ng’abakusasula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era n'agamba n'oyo eyamuyise nti, “ Bw'ofumbanga emmere ey'ekyemisana oba ey'ekyeggulo, toyitanga mikwano gyo, newakubadde baganda bo, newakubadde ab'ekika kyo, newakubadde baliraanwa bo abagagga; si kulwa nga nabo bakuyita, ne wabaawo okukusasula.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ate n'agamba n'oyo eyamuyita nti: “Bw'ofumbanga ekyemisana oba ekyeggulo, toyitanga mikwano gyo oba baganda bo, oba ab'ekika kyo, oba baliraanwa bo abagagga, si kulwa nga nabo bakuyita, n'osasulwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era n'agamba n'oyo eyamuyise nti Bw'ofumbanga emmere ey'ekyemisana oba ey'ekyeggulo, toyitanga mikwano gyo, newakubadde baganda bo, newakubadde ab'ekika kyo, newakubadde baliraanwa bo abagagga; mpozzi baleme okukuyita nate nabo, ne wabaawo okukusasula.