Luke 14:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo omu ku baali batudde okulya, bwe yawulira ebyo, n'amugamba nti: “Yeesiimye alirya emmere mu bwakabaka bwa Katonda.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omu ku bagenyi abaali batudde ku mmeeza bwe yawulira ebigambo ebyo n’agamba Yesu nti, “Alina omukisa oyo alirya embaga mu bwakabaka bwa Katonda.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omu ku abo abaali batudde awamu naye ku mmere, bwe yawulira ebyo, n'amugamba nti, “ Alina omukisa aliriira emmere mu bwakabaka bwa Katonda.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omu ku baali batudde awamu okulya bwe yawulira ebyo, n'agamba nti: “Wa mukisa oyo alirya emmere mu Bwakabaka bwa Katonda!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo omu ku abo abaali batudde awamu naye ku mmere, bwe yawulira ebyo, n'amugamba nti Alina omukisa aliriira emmere mu bwakabaka bwa Katonda.