Luke 14:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli omu okufaanana munne ne basooka okuwampanya; eyasooka n'amugamba nti: ‘Naguze ennimiro; nnina okugenda okugirambula; nkwegayiridde, mala gansonyiwa.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Naye bonna ne batandika okwewolereza; eyasooka n’agamba nti, ‘Nnaakagula ennimiro noolwekyo njagala kugenda kugirambula. Nkusaba onsonyiwe, nneme kujja.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bonna n'emmeeme emu ne batandika okwegayirira okusonyiyibwa. Ow'olubereberye n'amugamba nti, ‘Nguze olusuku, kiŋŋwanidde okuyimuka okugenda okululaba; nkwegayiridde nsonyiwa.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bonna, nga bali ng'abaalagaanye, ne batandika okwewolereza. Eyasooka yagamba nti: ‘Naguze ekibanja, nteekwa okugenda okukirambula. Nkwegayiridde, nsonyiwa.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bonna n'emmeeme emu ne batanula okwegayirira okusonyiyibwa. Ow'olubereberye n'amugamba nti Nguze olusuku, kiŋŋwanidde okuyimuka okugenda okululaba; nkwegayiridde nsonyiwa.