Luke 14:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omulala n'agamba nti: ‘Naguze emigongo gy'ente ezirima etaano, ŋŋenda kugigeza; nkwegayiridde, mala gansonyiwa.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omulala n’agamba nti, ‘Nnakagula emigogo gy’ente ezirima etaano njagala kuzigezaamu. Nkusaba onsonyiwe nneme kujja.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'omulala n'agamba nti, ‘Nguze emigogo gy'ente etaano, ŋŋenda kuzigezesa, nkwegayiridde nsonyiwa.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omulala n'agamba nti: ‘Naguze emigogo gy'ente etaano, era ŋŋenda kugigeza. Nkwegayiridde, nsonyiwa.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'omulala n'agamba nti Nguze emigogo gy'ente etaano, ŋŋenda kuzikema; nkwegayiridde nsonyiwa.