Luke 14:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuweereza n'ajja, ebyo n'abibuulira mukama we. Ssemaka mu busungu n'agamba omuweereza we nti: ‘Genda mangu mu nguudo ne mu nkuubo z'ekibuga, oyingize wano abaavu, abalema, bamuzibe ne bakateeyamba.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omuddu n’akomawo n’ategeeza mukama we ng’abagenyi be yayita bwe bagambye. Mukama we n’anyiiga, n’amulagira agende mangu mu nguudo ez’omu kibuga ne mu bikubo, ayite abaavu n’abagongobavu, n’abalema, ne bamuzibe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omuddu oyo n'addayo n'abibuulira mukama we. Olwo nnannyini nnyumba n'alyoka asunguwala n'agamba omuddu we nti, ‘Fuluma mangu ogende mu nguudo ne mu makubo ag'ekibuga, oleete wano abaavu n'abalema n'abazibe b'amaaso n'abawenyera.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Awo omuddu n'addayo, bino n'abibuulira mukama we. Olwo nnannyinimu n'asunguwala, n'agamba omuddu we nti: ‘Fuluma mangu, oyiteeyite mu nguudo ne mu buguudo bw'ekibuga, oleete wano abaavu ne bakateeyamba ne bamuzibe n'abalema.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo omuddu oyo n'ajja n'abuulira mukama we ebyo. Awo nnannyini nnyumba n'alyoka asunguwala n'agamba omuddu we nti Fuluma mangu ogende mu nguudo ne mu makubo ag'ekibuga, oleete wano abaavu n'abalema n'abazibe b'amaaso n'abawenyera.