Luke 14:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuweereza n'agamba nti: ‘Ssebo, nkoze nga bwe walagidde, naye era ekifo kikyaliwo.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omuddu n’agamba mukama we nti, ‘Bonna mbayise nga bw’ondagidde, naye era mu kisenge ky’embaga mukyalimu ebifo.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuddu n'agamba nti, ‘ Mukama wange, ky'olagidde kikoleddwa, naye wakyaliwo ebifo.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuddu n'agamba nti: ‘Mukama wange, kye walagidde kikoleddwa, naye wakyaliwo ekifo.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuddu n'agamba nti Mukama wange, ky'olagidde kikoleddwa, naye wakyaliwo ebbanga.