Luke 14:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Oli bw'ajja gye ndi n'amala takyawa kitaawe na nnyina, na mukazi we, na baana be, na baganda be, na bannyina, newandibadde obulamu bwe bwennyini, tayinza kubeera muyigirizwa wange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omuntu bw’anajjanga gye ndi, n’atakyawa kitaawe, oba nnyina, oba mukyala we n’abaana be, oba baganda be oba bannyina, newaakubadde obulamu bwe ye yennyini, tayinzenga kuba muyigirizwa wange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Omuntu bw'anajjanga gye ndi, n'atakyawa kitaawe ne nnyina ne mukazi we, n'abaana be, ne baganda be, ne bannyina, era n'obulamu bwe ye, taayinzenga kuba muyigirizwa wange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Singa omuntu ajja gye ndi, n'atakyawa kitaawe ne nnyina, ne mukazi we, n'abaana be, ne baganda be, ne bannyina, wadde n'obulamu bwe bwennyini, tayinza kuba muyigirizwa wange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuntu bw'anajjanga gye adi, n'atakyawa kitaawe ne nnyina ne mukazi we, n'abaana be, ne baganda be, ne bannyina, era n'obulamu bwe ye, taayinzenga kuba muyigirizwa wange.