Luke 14:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Yezu n'ayogera n'abayigiriza b'amateeka n'Abafarisaayo, n'agamba nti: “Kisaanye okuwonya ku Sabbaato, nandiki?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu n’abuuza Abafalisaayo n’abannyonnyozi b’amateeka nti, “Kikkirizibwa okuwonya ku lunaku lwa Ssabbiiti, oba nedda?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'addamu n'ayogera n'abayigiriza b'amateeka n'Abafalisaayo ng'agamba nti, “ Kirungi okuwonyeza ku ssabbiiti, nantiki si weewaawo?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'agamba abannyonnyozi b'amateeka n'Abafarisaayo nti: “Kikkirizibwa okuwonya ku Sabbaato, oba nedda?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yesu n'addamu n'ayogera n'abayigiriza b'amateeka n'Abafalisaayo ng'agamba nti Kirungi okuwonyeza ku ssabbiiti, nantiki si weewaawo?