Luke 14:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oba kale, kabaka ki ayagala okutabaala kabaka omulala, atasooka kutuula ne yeebuuza oba ayinza okutalira oli amujjira n'abantu obukumi obubiri, sso ye ng'alina kakumi kamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Oba kabaka ki agenda okulwana ne kabaka omulala amulumba, tamala kutuula n’abalirira obanga n’abaserikale omutwalo ogumu b’alina, asobola okulwanyisa kabaka omulala ajja okumulumba n’abaserikale emitwalo ebiri?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oba kabaka ki bw'aba ng'agenda ku lutalo okulwana ne kabaka omulala atasooka kutuula n'ateesa, oba ng'ayinza n'abantu omutwalo ogumu (10,000), okwaŋŋanga oli amulumba n'abantu emitwalo ebiri (20,000)?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Oba kabaka ki aba agenda okulwanyisa kabaka omulala mu lutalo, atasooka kutuula n'alowooza oba ng'ayinza, n'abantu omutwalo ogumu, okusisinkana oli amulumba n'abantu emitwalo ebiri?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oba kabaka ki bw'aba ng'agenda ku lutalo okulwana ne kabaka omulala atasookakutuula n'ateesa ebigambo, oba ng'ayinza n'akakumi okusisinkana n'oli amujjira n'obukumi obubiri?