Luke 14:32 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obanga taasobole, oli ng'akyali wala ddala n'amutumira ababaka bateesaganye emirembe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’afumiitiriza n’alaba nga tajja kusobola, atumira kabaka oli omubaka, ng’akyaliko wala, okuteesa emirembe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oba nga si bwe kityo, oli bw'aba akyali wala nnyo, atuma ababaka n'asaba eby'okutabagana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'aba nga tayinza, atuma ababaka ng'oli akyali wala, n'asaba batabagane.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oba nga si bwe kityo, oli bw'aba akyaali wala nnyo, atuma ababaka n'asaba eby'okutabagana.