Luke 14:33 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe kityo nno buli muntu mu mmwe ataleka byonna by'alina, tayinza kubeera muyigirizwa wange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale, buli muntu ku mmwe ateefiiriza byonna by’alina, tayinza kuba muyigirizwa wange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale bwe kityo buli muntu yenna ku mmwe ateefiirizenga byonna by'ali nabyo, taayinzenga kuba muyigirizwa wange.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale bwe kityo buli omu ku mmwe ateefiiriza byonna by'alina, tayinza kuba muyigirizwa wange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale bwe kityo buli muntu yenna ku mmwe ateefiirizenga byonna by'ali nabyo, taayinzenga kuba muyigirizwa wange.