Luke 14:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo n'abagamba nti: “Ani mu mmwe alina endogoyi oba ente, n'egwa mu luzzi, atagiggyamu mangu ago newandibadde ku Sabbaato?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’alyoka abakyukira n’ababuuza nti, “Ani ku mmwe singa omwana we agwa mu kinnya oba ente ye n’egwa mu kinnya ku lunaku lwa Ssabbiiti, atamuggyayo oba atagiggyaayo mangwago?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abagamba nti, “ Ani ku mmwe alina endogoyi ye oba nte ye bw'egwa mu luzzi atagiggyaamu mangu ago ku lunaku lwa Ssabbiiti?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agamba nti: “Ani ku mmwe, endogoyi ye oba ente ye bw'egwa mu luzzi atagiggyaamu mangwago ku lunaku lwa Sabbaato?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abagamba nti Ani ku mmwe alina endogoyi ye oba nte ye ng'egudde mu luzzi atagiggyaamu mangu ago ku ssabbiiti?