Luke 15:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
asingako obuto ku bombi n'agamba kitaawe nti: ‘Kitange, ekitundu ky'obusika ekyandibadde omugabo gwange kimpe.’ Naye ebintu n'abibagabanyizaamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuto n’agamba kitaawe nti, ‘Kitange, nkusaba ompe omugabo gwange ku bintu byo ogunsaanidde.’ Kitaawe n’abagabanyiza ebintu byabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
omuto n'agamba kitaawe nti, Kitange, mpa omugabo gw'ebintu oguŋŋwanidde. Kale n'abagabanyiza ebintu eby'obulamu bwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuto ku bombi n'agamba kitaawe nti: ‘Kitange, mpa omugabo ogwange ku bintu byo.’ Awo n'abagabanyiza mu bintu bye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
omuto n'agamba kitaawe nti Kitange, mpa omugabo gw'ebintu oguŋŋwanidde. Kale n'abagabira eby'obulamu bwe.