Luke 15:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yamala okuggwesa byonna, enjala n'egwa nnyingi mu nsi eyo; n'asooka okujeera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kiseera ekyo we yamalirawo ebintu bye byonna, n’enjala nnyingi we yagwira mu nsi omwo mwe yali, n’asiibanga era n’asulanga enjala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe yamala okubirya byonna, enjala nnyingi n'egwa mu nsi omwo, n'atandika okudaagana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo bwe yabimalaawo byonna, enjala n'egwa nnyingi mu nsi eyo, n'atandika okuba mu buzibu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe yamala okubirya byonna, enjala nnyingi n'egwa mu nsi omwo, n'atanula okudaagana.