Luke 15:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne yeddamu muli, n'agamba nti: ‘Mu nnyumba ya kitange abakozi bali bameka abalya emmere n'okulemwa ne balemwa? Wuuno ndi wano nfa enjala!
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Naye bwe yeddamu n’agamba nti, ‘Eka ewaffe, abasajja abapakasi aba kitange bafuna emmere nnyingi ne balya ne balemwa, naye nze ndi wano nfiira wano enjala!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bwe yeddamu, n'agamba nti, Abaweereza bameka ab'empeera aba kitange abakkuta emmere ne balemwa, nange nfiira wano enjala!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka bwe yeerowooza, n'agamba nti: ‘Abapakasi ba kitange bameka abalya emmere n'ebalemerawo, naye nze nfiira wano enjala!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bwe yeddamu, n'agamba nti Abaweereza bameka ab'empeera aba kitange abakkuta emmere ne balemwa, nange nfiira wano enjala!