Luke 15:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abafarisaayo n'abawandiisi ne beemulugunya, ne bagamba nti: “Ono ayaniriza aboonoonyi n'okulya n'alya nabo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Abafalisaayo n’abannyonnyozi b’amateeka ne beemulugunya nga bagamba nti Yesu akolagana n’abantu abalina ebibi, n’okulya n’alya nabo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abafalisaayo era n'abawandiisi ne beemulugunya, nga bagamba nti, “ Ono asembeza abalina ebibi, era alya nabo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abafarisaayo n'abannyonnyozi b'amateeka ne beemulugunya nga bagamba nti: “Ono ayaniriza aboonoonyi era alya nabo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abafalisaayo era n'abawandiisi ne beemulugunya, nga bagamba nti Ono asembeza abalina ebibi, era alya nabo.