Luke 15:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“N'ayimuka n'alaga eri kitaawe. Naye bwe yali akyali walako, kitaawe n'amulengera, n'akwatibwa ekisa, n'addukanako, n'amugwa mu kifuba, n'amunywegera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’atyo n’asitula n’addayo ewa kitaawe. “Naye bwe yali ng’akyaliko wala n’awaka, kitaawe n’amulengera ng’ajja, n’amusaasira nnyo. Kitaawe ng’ajjudde amaziga n’amusisinkana, n’amugwa mu kifuba n’amunywegera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'agolokoka n'agenda eri kitaawe. Naye yali ng'akyali wala, kitaawe n'amulengera, n'amusaasira, n'adduka, n'amugwa mu kifuba, n'amunywegera nnyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'asituka, n'agenda eri kitaawe. “Bwe yali ng'akyali wala, kitaawe n'amulengera, n'akwatibwa ekisa, n'adduka, n'amugwa mu kifuba, n'amunywegera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agolokoka n'ajja eri kitaawe. Naye yali ng'akyali wala, kitaawe n'amulengera, n'amusaasira, n'addukana mbiro, n'amugwa mu kifuba, n'amunywegera nnyo.