Luke 15:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mutabani we n'amugamba nti: ‘Ssebo, nayonoona eri eggulu ne mu maaso go; sikyasaana na kuyitibwa mwana wo.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omwana n’agamba kitaawe nti, ‘Kitange, nnyonoonye eri eggulu ne mu maaso go. Sikyasaanira kuyitibwa mwana wo.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oyo omwana n'amugamba nti, Kitange, nnyonoonye eri eggulu ne mu maaso go; sikyasaana kuyitibwa mwana wo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omwana n'agamba nti: ‘Kitange, nayonoona eri Katonda ne mu maaso go. Sikyasaanira kuyitibwa mwana wo!’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oyo omwana n'amugamba nti Kitange, nnyonoonye eri eggulu ne mu maaso go; sikyasaana kuyitibwa mwana wo.