Luke 15:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye kitaawe n'agamba abaweereza be nti: ‘Muleete omunagiro ogusinga obulungi mumwambaze, mumunaanike n'empeta ku ngalo, n'engatto mu bigere;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Naye kitaawe n’alagira abaddu be nti, ‘Mwanguwe mangu! Muleete ekkanzu esinga obulungi mugimwambaze. Mumunaanike empeta ku ngalo ye, mumwambaze n’engatto!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye kitaawe n'agamba abaddu be nti, Mugende muleete mangu olugoye olusinga zonna, mulumwambaze: mumunaanike empeta ku ngalo, n'engatto mu bigere bye:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka kitaawe n'agamba abaddu be nti: ‘Mwanguwe, muleete ekyambalo ekisinga obulungi, mukimwambaze, era mumunaanike empeta ku ngalo, n'engatto mu bigere.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye kitaawe n'agamba abaddu be nti Mugende muleete mangu olugoye olusinga zonna, mulumwambaze: mumunaanike empeta ku ngalo, n'engatto mu bigere bye: