Luke 15:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye mutabani we omukulu yali mu nnimiro; bwe yali akomawo ng'ali kumpi n'ennyumba, n'awulira okuyimba, n'okuzina.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mu kiseera ekyo omwana omukulu yali ali mu nnimiro. Awo bwe yali akomawo eka ng’asemberedde ennyumba, n’awulira ennyimba ez’amazina.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Naye omwana we omukulu yali mu kyalo; bwe yajja ng'anaatera okutuuka ku nnyumba, n'awulira eŋŋoma n'amazina.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Omwana we omukulu yali mu nnimiro. Bwe yali ajja, era ng'asemberedde ennyumba, n'awulira ekinyumu nga bayimba era nga bazina.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye omwana we omukulu yali mu kyalo; bwe yajja ng'anaatera okutuuka ku nnyumba, n'awulira eŋŋoma n'amazina.