Luke 15:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye n'amugamba nti: ‘Muganda wo akomyewo; kitaawo kwe kutta ennyana ensava; kubanga amufunye ng'akyali mulamu.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuweereza n’amutegeeza nti, ‘Muganda wo akomyewo, era kitammwe amuttidde ennyana eya ssava olwokubanga muganda wo akomyewo nga mulamu bulungi.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'amugamba nti, Muganda wo azze: ne kitaawo amuttidde ennyana eya ssava kubanga amuzaawudde nga mulamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuddu n'amugamba nti: ‘Muganda wo azze, kitaawo n'atta ennyana eyassava, kubanga amwanirizza nga mulamu.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amugamba nti Muganda wo azze: ne kitaawo amuttidde ennyana eya ssava kubanga amuzaawudde nga mulamu: