Luke 15:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ye n'asunguwala, n'agaana okuyingira. Awo kitaawe n'afuluma, n'amwegayirira;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Muganda we omukulu n’anyiiga, n’okuyingira n’atayingira mu nnyumba. Naye kitaawe n’ajja n’amwegayirira ayingire,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye n'asunguwala, n'atayagala kuyingira: awo kitaawe n'afuluma n'amwegayirira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ye n'asunguwala, n'atayagala kuyingira. Awo kitaawe n'afuluma n'amwegayirira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye n'asunguwala, n'atayagala kuyingira: kitaawe n'afuluma n'amwegayirira.