Luke 15:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
naye ye n'ayanukula kitaawe nti: ‘Laba, emyaka gino gyonna nkuweerezza, sikutenguwangako mu by'ondagira; sso tompanga yadde akabuzi nsanyuke ne bannange!
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
naye omwana n’amuddamu nti, ‘Emyaka gino gyonna nkukoledde, era tewali mulundi na gumu Lwe wali ondagidde ne nkujeemera. Naye tompangayo wadde akabuzi akato neesanyuseeko ne mikwano gyange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ye n'addamu n'agamba kitaawe nti, Laba, emyaka gino mingi nga nkuweereza, so sikusobyanga n'akatono ky'ondagidde; nange ennaku zonna tompanga wadde na kabuzi nsanyukeko ne mikwano gyange;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ye n'addamu kitaawe nti: ‘Laba, emyaka mingi gye mmaze nga nkukolera, era sijeemerangako kiragiro kyo. Naye tompanga wadde akabuzi, nsanyukeko ne mikwano gyange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ye n'addamu n'agamba kitaawe nti Laba, emyaka gino mingi nga nkuweereza, so sikusobyanga n'akatono ky'ondagidde; nange ennaku zonna tompanga na kabuzi ka kusanyuka ne mikwano gyange;