Luke 15:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye mutabani wo ono eyalya ebibyo ne bamalaaya bw'akomyewo, ggwe n'omuttira ennyana ensava!’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye kale mutabani wo olukomyewo ng’ebintu byo bye wamuwa amaze okubimalira mu bamalaaya, n’omuttira ennyana ensava.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye omwana wo oyo, eyalya ebintu eby'obulamu bwo wamu n'abenzi, bw'azze, ng'omuttira ennyana eya ssava.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye omwana wo ono, eyalya ebintu byo ng'ali ne bamalaaya, bw'azze, omuttidde ennyana eyassava!’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye omwana wo oyo, eyalya eby'obulamu bwo wamu n'abenzi, bw'azze, ng'omuttira ennyana eya ssava.