Luke 15:32 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye kibadde kisaana okusanyuka n'okujaguza, kubanga muganda wo oyo, yali afudde, kati mulamu; yali azaaye, azaawuse.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kaakano kituufu okusanyuka n’okujaguza. Kubanga muganda wo, yali afudde, kaakano mulamu! Yali azaaye, wuuno azaawuse!’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye okujaguza n'okusanyuka kwa nsonga: kubanga muganda wo oyo yali afudde, azuukidde; era yali azaaye, azaawuse.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye kibadde kituufu okujaguza n'okusanyuka, kubanga muganda wo ono, yali afudde, azuukidde; yali azaaye, azaawuse.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye okujaguza n'okusanyuka kwa nsonga: kubanga muganda wo oyo yali afudde, azuukidde; era yali azaaye, azaawuse.