Luke 15:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Oba kale mukazi ki abeera ne durakima ze ekkumi, bw'amala abulwako emu, atakoleeza ttawaaza, n'ayera ennyumba ye, n'anoonya n'obwegendereza okutuusa lw'agiraba?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Oba mukazi ki alina ennoso ze kkumi, emu n’emubulako, atakoleeza ttaala n’anoonya mu buli kasonda konna ak’ennyumba, n’ayera n’ebuziizi yenna okutuusa lw’agiraba?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Oba mukazi ki alina erupiya ekkumi (10), bw'abulwako erupiya emu, atakoleeza ttaala n'ayera ennyumba, n'anyiikira okunoonya okutuusa lw'agizuula?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Oba mukazi ki aba n'ebisente kkumi ebya ffeeza, singa abulwako ekimu, atakoleeza ttaala, n'ayera ennyumba, n'anoonya n'obwegendereza okutuusa lw'akizuula?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oba mukazi ki alina erupiya ekkumi, bw'abulwako erupiya emu, atakoleeza ttabaaza n'ayera ennyumba, n'anyiikira okunoonya okutuusa lw'agizuula?