Luke 16:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era n'agamba abayigirizwa be nti: “Waaliwo omuntu omugagga ng'alina omuwanika we; ne bamumuloopera nti yali ayiwaayiwa ebibye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Waaliwo omusajja omugagga ng’alina omuwanika we amulabiririra ebintu bye. Ne wabaawo abaamuloopera nti omuwanika oyo yali asaasaanya ebintu bye, ng’abidiibuuda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yesu n'agamba abayigirizwa be nti, “ Waaliwo omuntu omugagga eyalina omuwanika we; omuwanika oyo ne bamuloopa gy'ali ng'asaasaanya ebintu bye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'agamba abayigirizwa be nti: “Waaliwo omuntu omugagga eyalina omuwanika we. Oyo ne bamumuloopera nti asaasaanyizza ebintu bye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'agamba abayigirizwa be nabo nti Waaliwo omuntu omugagga eyalina omuwanika we; oyo ne bamuloopa gy'ali ng'asaasaanya ebintu bye.