Luke 16:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abeera omwesigwa mu bitono aba mwesigwa ne mu bingi; n'aba omulyazaamaanyi mu bitono aba mulyazaamaanyi ne mu bingi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu omwesigwa mu kintu ekitono, abeera mwesigwa ne mu kinene; n’oyo ataba mwesigwa mu kitono era ne mu kinene taba mwesigwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Aba omwesigwa ku kintu ekitono ennyo, ne ku kinene aba mwesigwa: era aba omulyazaamaanyi ku kintu ekitono ennyo, ne ku kinene aba mulyazaamaanyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Oyo aba omwesigwa ku kitono, aba mwesigwa ne ku kinene; n'oyo ataba mwesigwa ku kitono, taba mwesigwa ne ku kinene.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Aba omwesigwa ku kintu ekitono ennyo, ne ku kinene aba mwesigwa: era aba omulyazaamaanyi ku kintu ekitono ennyo, ne ku kinene aba mulyazaamaanyi.