Luke 16:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale oba temwali beesigwa mu bugagga obubi, obugagga ddala ani alibubakwasa?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale obanga temwesigibwa mu bugagga obutali butuukirivu, ani agenda okubeesiga mu bugagga obw’amazima?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale bwe mutaabenga beesigwa ku mamona atali mutuukirivu, ani alibateresa obugagga obw'amazima?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale bwe mutaba beesigwa mu bugagga obw'ensi, ani alibateresa obugagga bwennyini?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale bwe mutaabenga beesigwa ku mamona atali mutuukirivu, ani alibateresa obugagga obw'amazima?