Luke 16:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mpaawo muweereza asobola kuweereza baami babiri; kubanga oba alikyawako omu, n'ayagala omulala, oba alyesiba ku omu, omulala n'amunyooma. Temuyinza kuweereza Katonda na byabugagga.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Tewali muddu ayinza kuweereza bakulu babiri. Kubanga alikyawako omu n’ayagala omulala, oba aliwulirako omu n’anyooma omulala. Toyinza kuweereza Katonda na mamona.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tewali muweereza ayinza okuweereza abaami ababiri; kubanga oba alikyawako omu n'ayagala omulala; oba alinywerera ku omu n'anyooma omulala. Temuyinza kuweerezanga Katonda ne mamona.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Tewali muddu ayinza kuba na bakama be babiri, kubanga alikyawa omu n'ayagala omulala; oba alinywerera ku omu, n'anyooma omulala. Temuyinza kuba baddu ba Katonda ate ne muba baddu ba bugagga obw'ensi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tewali muweereza ayinza okuweereza abaami ababiri; kubanga oba alikyawako omu n'ayagala omulala; oba alinywerera ku omu n'anyooma omutala. Temuyinza kuweerezanga Katonda ne mamona.