Luke 16:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abafarisaayo, abaali abaagazi b'essente, ebyo byonna baabiwulira, naye ne bamusekerera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Abafalisaayo, abaali abaluvu b’ensimbi, bwe baawulira ebigambo ebyo ne banyooma Yesu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Abafalisaayo, abaali abaagazi b'effeeza, ne bawulira ebyo byonna; ne bamusekerera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Abafarisaayo abaali abaagazi b'ebyobugagga, ne bawulira ebyo byonna, ne basekerera Yesu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'Abafalisaayo, abaali abaagazi b'effeeza, ne bawulira ebyo byonna; ne bamusekerera.