Luke 16:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Buli agoba mukazi we n'awasa omulala, aba ayenze; n'oyo awasa omukazi agobeddwa ku bba, aba ayenze.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omusajja yenna agoba mukazi we n’awasa omulala aba ayenze; n’oyo awasa omukazi agobeddwa, naye aba ayenze.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli muntu yenna anaagobanga mukazi we n'awasa omulala, ng'ayenze; n'oyo anaawasanga eyagobebwa bba ng'ayenze.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Buli agoba mukazi we, ate n'awasa omukazi omulala, aba ayenze. Era oyo awasa omukazi agobeddwa bba, aba ayenze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Buli muntu yenna anaagobanga mukazi we n'awasa omulala, ng'ayenze; n'oyo anaawasanga eyagobebwa bba ng'ayenze.