Luke 16:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Waaliwo omugagga, eyayambalanga eminagiro egya kakobe n'engoye ezinekaaneka, era buli lunaku ng'aliira mu kinyumu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu n’abagamba nti, “Waaliwo omusajja omugagga ennyo, eyayambalanga engoye ez’effulungu ne linena era bulijjo ng’abeera mu masanyu era ng’alya ebyassava.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Awo waaliwo omuntu omugagga eyayambalanga olugoye olw'effulungu ne bafuta ennungi, eyabeeranga bulijjo mu kwesiima ng'asanyuka:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Waaliwo omuntu omugagga, eyayambalanga engoye eza kakobe, n'engoye ezinekaaneka, era eyabeeranga mu bulamu obw'okwejalabya buli lunaku.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo waaliwo omuntu omugagga eyayambalanga olugoye olw'effulungu ne bafuta ennungi, ng'asanyukanga bulijjo mu kwesiima: