Luke 16:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'amuyita, n'amugamba nti: ‘Kye mpulidde ku ggwe kiri kitya? Kale woza obuwanika bwo, kubanga tokyayinza kubeera muwanika.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama we n’amuyita n’amubuuza nti, ‘Biki ebyo bye nkuwulirako? Kale genda otegeke lipoota y’ebintu byange nga bwe biri ogindeetere. Omulimu gukufudde.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'amuyita n'amugamba nti Kiki kino kye mpulira ku ggwe? Bala omuwendo ogw'obuwanika bwo; kubanga tokyayinza nate kubeera muwanika.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo n'amuyita n'amugamba nti: ‘Kino kye nkuwuliddeko kiri kitya? Nnyonnyola ebifa ku buwanika bwo, kubanga tokyayinza kusigala ng'oli muwanika.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amuyita n'amugamba nti Kiki kino kye mpulira ku ggwe? bala omuwendo ogw'obuwanika bwo; kubanga toyinza nate kubeera muwanika.