Luke 16:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate omusajja omu omunkuseere, erinnya lye Lazaro, yassibwanga awo ku wankaaki we, ng'ajjudde amabwa;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Waaliwo n’omusajja omwavu erinnya lye nga ye Laazaalo nga mulwadde ng’ajjudde amabwa ku mubiri gwe, eyateekebwanga ku mulyango gw’omusajja omugagga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era waaliwo n'omwavu erinnya lye Laazaalo, eyali awummusewummuse amabwa eyagalamizibwanga ku mulyango gw'ennyumba y'omugagga oyo,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Waaliwo n'omwavu, erinnya lye Laazaro, eyali ajjudde amabwa, era eyagalamizibwanga ku mulyango gw'ennyumba y'omugagga oyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era waaliwo n'omwavu erinnya lye Laazaalo eyagalamizibwanga ku mulyango gwe, eyali awummusewummuse amabwa,