Luke 16:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
yeegombanga okukkuta n'obukunkumuka obwagwanga okuva ku mmeeza y'omugagga; ate n'embwa zajjanga ne zimukomberera amabwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laazaalo ne yeegombanga okulya obukunkumuka obwagwanga wansi nga buva ku mmeeza ya nnaggagga. N’embwa zajjanga ne zikomberera amabwa ga Laazaalo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nga yeegomba okukkuta ebyagwanga okuva ku mmeeza y'omugagga; era embwa nazo zajjanga ne zikombereranga amabwa ge.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Laazaro ono yeegombanga okulya n'okukkuta obukunkumuka bw'emmere obwagwanga, nga buva ku mmeeza y'omugagga. Era embwa zajjanga ne zikomberera amabwa ge.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga yeegomba okukkuta ebyagwanga okuva ku mmeeza y'omugagga; era embwa nazo zajjanga ne zimukombereranga amabwa ge.