Luke 16:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Olwatuuka, omunkuseere oyo n'afa, bamalayika ne bamutwala ku mubiri gwa Yiburayimu. Omugagga naye n'afa, n'aziikibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ekiseera kyatuuka omusajja omwavu n’afa, bamalayika ne bamutwala mu kifuba kya Ibulayimu. Oluvannyuma n’omugagga naye n’afa, n’aziikibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka omwavu n'afa, n'asitulibwa bamalayika n'assibwa mu kifuba kya Ibulayimu. N'omugagga naye n'afa, n'aziikibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Awo olwatuuka, omwavu oyo n'afa, n'atwalibwa bamalayika awali Aburahamu. Omugagga naye n'afa, n'aziikibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka omwavu n'afa, n'asitulibwa bamalayika nassibwa mu kifuba kya Ibulayimu. N'omugagga n'afa, n'aziikibwa.