Luke 16:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yali mu magombe mu bibonoobono, n'ayimusa amaaso ge, n'alengera Yiburayimu ewalako, nga Lazaro amutudde ku mubiri,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ng’ali eyo mu magombe mu kubonaabona, n’atunula waggulu n’alaba Laazaalo ng’ali mu kifuba kya Ibulayimu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ng'ali mu kulumizibwa kungi emagombe, n'ayimusa amaaso ge n'alengera Ibulayimu ng'ali wala, ne Laazaalo ng'ali mu kifuba kye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ng'ali mu bulumi bungi emagombe, n'ayimusa amaaso ge n'alengera Aburahamu, n'alengera ne Laazaro awali Aburahamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayimusiza amaaso ge mu Magombe ng'ali mu kulumizibwa, n'alengera Ibulayimu wala, ne Laazaalo ng'ali mu kifuba kye.