Luke 16:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'akoowoola nti: ‘Kitange Yiburayimu, nsaasira otume Lazaro annyike mu mazzi akasammambiro k'engalo ye avubirize olulimi lwange, kubanga nnumwa mu muliro guno.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’akoowoola nti, ‘Kitange Ibulayimu, nsaasira, ontumire Laazaalo oyo annyike olugalo Lwe mu mazzi, nkombeko, naye olulimi lumbabuukirira nnyo mu muliro guno ogumbonyaabonya!’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ayogerera waggulu n'agamba nti, ‘Kitange Ibulayimu, nsaasira, otume Laazaalo, annyike ensonda y'olunwe lwe mu mazzi, awozeewoze olulimi lwange; kubanga ndi mu bulumi bungi mu muliro guno.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo n'akoowoola ng'agamba nti: ‘Kitange Aburahamu, nkwatirwa ekisa otume Laazaro, annyike akasammambiro k'olunwe lwe mu mazzi, avubirize olulimi lwange, kubanga ndi mu bulumi bungi mu muliro guno.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogerera waggulu n'agamba nti Kitange Ibulayimu, nsaasira, otume Laazaalo, annyike ensonda y'olunwe lwe mu mazzi, ampozeewoze olulimi lwange; kubanga nnumwa mu muliro guno.