Luke 16:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yiburayimu n'amugamba nti: ‘Mwana wange, jjukira nga wafuna ebirungi byo mu bulamu bwo, ye Lazaro bibi byereere; kati ye akubagizibwa, ate ggwe oli mu kulumwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Naye Ibulayimu n’amuddamu nti, ‘Mwana wange, jjukira nga mu biseera byo ng’okyali mulamu wafuna ebirungi bye weetaaganga, naye nga Laazaalo ye afuna bibi. Kaakano Laazaalo asanyusibwa naye gwe oli mu kubonaabona.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Ibulayimu n'amugamba nti, ‘ Mwana wange, jjukira nga ggwe waweebwanga ebirungi byo mu bulamu bwo, era ne Laazaalo bw'atyo yaweebwanga ebibi; naye kaakano ye asanyusibwa, ggwe olumwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Aburahamu n'agamba nti: ‘Mwana wange, jjukira nti ebirungi ebibyo wabifuna ng'okyali mulamu, ye Laazaro n'afuna ebitali birungi. Kaakati ye wano asanyuka, nga ggwe oli mu bulumi obungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Ibulayimu n'amugamba nti Mwana wange, jjukira nga waweebwanga ebirungi byo mu bulamu bwo, era ne Laazaalo bw'atyo ebibi; naye kaakano ye asanyusibwa, ggwe olumwa.