Luke 16:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye ate naddala, wakati waffe nammwe waateekebwawo olukonko olunene, abandyagadde okuva eno okujja gye muli balemwe, n'ewaandibadde ab'eyo okujja gye tuli.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate n’ekirala, wakati waffe nammwe waliwo olukonko luwanvu nnyo olutwawula, omuntu ali eno bw’ayagala okujja eyo akoma awo ku mugo gwalwo, n’oyo ali eyo ayagala okujja eno tasobola.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ku ebyo byonna, wakati waffe nammwe waliwo olukonko oluwanvu olwateekebwawo, abaagala okuva eno okujja gye muli balemenga okuyinza, era balemenga okuva eyo okuyitawo okujja gyetuli.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ate ebyo byonna ng'obitadde ku bbali, waateekebwawo olukonko lunene wakati waffe nammwe, abo abaagala okuva eno okujja gye muli tebayinza, era tewali ayinza kuva eyo okujja gye tuli.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ku ebyo byonna, wakati waffe nammwe waliwo olukonko oluwanvu olwateekebwawo, abaagala okuva eno okujja gye muli balemenga okuyinza, era balemenga okuva eyo okuyitawo okujja gye tuli.