Luke 16:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga nnina baganda bange bataano; abalabule baleme kujja mu kifo kino eky'ebibonoobono.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kubanga nninayo abooluganda bataano, abandabulire, bwe balifa baleme kujja mu kifo kino ekirimu okubonaabona okwenkanidde wano.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga nnina baganda bange bataano; abalabule baleme okujja nabo mu kifo kino ekirimu okulumwa.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga nninayo baganda bange bataano, agende abalabule, sikulwa nga nabo bajja mu kifo kino eky'obulumi obungi.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga nnina ab'oluganda bataano; abategeeze baleme okujja nabo mu kifo kino ekirimu okulumwa.