Luke 16:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo omuwanika ne yeebuuza munda muli nti: ‘Nnaakola ntya, anti mukama wange obuwanika buubuno abunzigyako? Okulima sikusobola, n'okusabiriza kunkwasa ensonyi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omuwanika n’alowooza mu mutima gwe, nga yeebuuza nti, ‘Kale kaakano nkole ntya? Mukama wange wuuno angoba ku mulimu. Sirina maanyi galima, n’okusabiriza kunkwasa ensonyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oyo omuwanika n'ayogera munda mu ye nti Nnaakola ntya, kubanga mukama wange anzigyako obuwanika bwange? Sirina galima; ate nkwatibwa ensonyi okusabiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuwanika ne yeebuuza mu mutima gwe nti: ‘Kiki kye nnaakola, kubanga mukama wange anzigyako obuwanika? Sirina maanyi ga kulima, ate nkwatibwa ensonyi okusabiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oyo omuwanika n'ayogera munda mu ye nti Nnaakola ntya, kubanga mukama wange anziyako obuwanika bwange? sirina galima; n'okusabiriza nkwatibwa ensonyi.