Luke 16:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye n'agamba nti: ‘Nedda, kitange Yiburayimu; wabula omu bw'anaabatuukako okuva mu bafu, bajja kwenenya.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omugagga n’addamu nti, ‘Nedda, kitange Ibulayimu, singa batumirwa omuntu ng’ava mu bafu, bajja kwenenya.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'agamba nti, ‘Nedda, kitange Ibulayimu; naye omu ku bafu bw'aligenda gyebali balyenenya.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omugagga n'agamba nti: ‘Kitange Aburahamu, nedda, naye singa wabaawo azuukira n'agenda gye bali, baneenenya.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agamba nti Nedda, kitange Ibulayimu; naye omu ku bafu bw'aligenda gye bali balyenenya.