Luke 16:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'amuddamu nti: ‘Bwe batawulira Musa na balanzi, oli ne bw'anaazuukira okuva mu bafu, tebagenda kukkiriza.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Awo Ibulayimu n’amugamba nti, ‘Obanga tebagondera Musa ne bannabbi, newaakubadde alizuukira okuva mu bafu talibakkirizisa.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'amugamba nti, ‘ Nga bwe batawulira Musa ne bannabbi, era newakubadde omu ku bafu bw'alizuukira, talibakkirizisa.’”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Aburahamu n'agamba nti: ‘Oba nga tebawulira Musa na balanzi, tebajja kukkiriza newaakubadde wabaawo azuukira.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amugamba nti Nga bwe batawulira Musa ne bannabbi, era newakubadde omu ku bafu bw'alizuukira, talibakkirizisa.