Luke 16:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye n'agamba nti: ‘Amatogero g'omuzigo kikumi.’ N'amugamba nti: ‘Kwako ekiwandiiko kyo, tuula mangu owandiike amakumi ataano.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omusajja n’addamu nti, ‘Ammanja endebe z’omuzigo kikumi mu ataano.’ Omuwanika n’amugamba nti, ‘Kwako empapula zo kw’obanjirwa ogende owandiike endebe amakumi ataano.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'agamba nti, ‘Ebigera by'amafuta kikumi (100).’ Nnaamugamba nti, ‘ Twala ebbaluwa yo, otuule mangu owandiike ataano (50).’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'addamu nti: ‘Endebe z'omuzigo ebikumi bibiri.’ Omuwanika n'amugamba nti: ‘Kwata endagaano kw'obanjirwa. Tuula mangu, owandiike kikumi.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agamba nti Ebigera by'amafuta kikumi. N'amugamba nti Twala ebbaluwa yo, otuule mangu owandiike amakumi ataano.